Job 28

1“Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
n’ekifo gye balongooseza effeeza.
2 aEkyuma kisimibwa mu ttaka,
n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
3 bOmuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
4Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
mu bifo eteyita bantu,
ewala okuva abantu gye bayita.
5 cEnsi evaamu emmere,
naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
6Safira eva mu mayinja gaayo,
era enfuufu yaayo erimu zaabu.
7Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
8Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
tewali mpologoma yali eyiseeyo.
9Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10Asima ensalosalo ku njazi;
n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
11Anoonya wansi mu migga,
n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.

12 d“Naye amagezi gasangibwa wa?
Okutegeera kuva wa?
13 eOmuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 fTegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 gZaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 hKolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 iTopazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.

20 j“Kale amagezi gava ludda wa?
N’okutegeera kubeera ludda wa?
21Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 kOkuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 lKatonda ategeera ekkubo erigatuukako
era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 mkubanga alaba enkomerero y’ensi
era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 nBwe yateekawo amaanyi g’empewo,
n’apima n’amazzi,
26 obwe yateekera enkuba etteeka
era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
n’agateekawo, n’agagezesa.
28 pN’agamba omuntu nti,
‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”
Copyright information for LugEEEE